AMAZIGA! Omukyala asindikiddwa mu kkomera ku by’okubba omwana myezi 3

©GALAXY

Omukyala Oliver Kisakye asindikiddwa ku Limanda mu kkomera lye Kirinya, okutuusa nga 18, July, 2018 ku misango gy’okubba omwana. Kisakye yabba omwana w’obulenzi myezi 3 okuva ku nnyina Agnes Apio omutuuze we Masese 111, bwe yali yefudde omuyambi agenda okuwa Apio omulimu. Apio yategeeza ku Poliisi era omukyala Kisakye bamukwatira ku kyalo UEB mu ggombolola […]


Omukyala Oliver Kisakye asindikiddwa ku Limanda mu kkomera lye Kirinya, okutuusa nga 18, July, 2018 ku misango gy’okubba omwana.

Kisakye yabba omwana w’obulenzi myezi 3 okuva ku nnyina Agnes Apio omutuuze we Masese 111, bwe yali yefudde omuyambi agenda okuwa Apio omulimu.

Apio yategeeza ku Poliisi era omukyala Kisakye bamukwatira ku kyalo UEB mu ggombolola y’e Njeru oluvanyuma lwa batuuze okumulaba n’omwana omuto ng’ali mu maziga, kwekutegeza ku Poliisi.

Omulamuzi wa kkooti esokerwako e Jinja Sumaya Kasule, asindiise Kisakye ku Limanda, omusango okuddamu okuwulirwa nga 18, July, 2018.