NAYE LWAKI! Aba Agent ba Mobile Money balumbye Palamenti, bawakanya omusolo ku mirimu gyabwe

©GALAXY

Abali mulimu gwa Mobile Money bakedde kutambula nga bakutte ebipande okulumba Palamenti, okwasa sipiika wa Palamenti Rebecca Alitwala Kadaga ekiwandiiko kyabwe ekitekeddwamu okwemulugunya kwabwe ku musolo ogwatekeddwa ku mirimu gyabwe. Olunnaku olw’eggulo, Omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni yakatirizza nti abantu bonna abagala okusindika n’okugyayo ssente, batekeddwako omusolo gwa 0.5 ku buli 100 okuva ku […]


Abali mulimu gwa Mobile Money bakedde kutambula nga bakutte ebipande okulumba Palamenti, okwasa sipiika wa Palamenti Rebecca Alitwala Kadaga ekiwandiiko kyabwe ekitekeddwamu okwemulugunya kwabwe ku musolo ogwatekeddwa ku mirimu gyabwe.

Olunnaku olw’eggulo, Omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni yakatirizza nti abantu bonna abagala okusindika n’okugyayo ssente, batekeddwako omusolo gwa 0.5 ku buli 100 okuva ku shs 1 ku buli 100 nga we basooka okulangirira.

Wabula ba Agent ba Mobile Money bagamba nti bakasitoma bayongedde okwesala nga kivudde ku musolo ogwatekeddwawo.

Basimbudde okuva e Kibuye ku luguudo lwe Ntebbe nga bakutte ebipande ebiwakanya okugibwako omusolo kuba kigenda kusanyawo emirimu gyabwe.