KITALO NNYO! Akabenje katuze abooluganda 4 e Masaka, abataawa beyongedde

©GALAXY

Akabenje kagudde ku luggudo oluva e Masaka okudda e Mbarara mu kiro ekikeseza olwa leero era abantu 4 bafiriddewo. Okusinzira kw’amyuka adduumira Poliisi y’e Masaka ate nga mwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo Lameck Kigozi, akabenje kabadde ku kyalo Kirumba okumpi ne kibuga kye Kyazanga, nga kabaddemu emmotoka bbiri (2). Emmotoka namba UBC 277b ekika […]


Akabenje kagudde ku luggudo oluva e Masaka okudda e Mbarara mu kiro ekikeseza olwa leero era abantu 4 bafiriddewo.

Okusinzira kw’amyuka adduumira Poliisi y’e Masaka ate nga mwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo Lameck Kigozi, akabenje kabadde ku kyalo Kirumba okumpi ne kibuga kye Kyazanga, nga kabaddemu emmotoka bbiri (2).

Emmotoka namba UBC 277b ekika kya Premio ebadde eva e Masaka okudda e Lyantonde yatomegaranye bwenyi ku bwenyi ne Costa UAY 071B okuva e Mbarara okudda e Masaka.

Lameck Kigozi
Lameck Kigozi

Lameck agamba nti abafudde bana (4) ababadde mu mmotoka ya Premio baluganda okuli eliko omumyuka wa RDC w’e Kalungu Teopistar Mbabazi Kabaliisa ng’ono mwannyina wa ssentebe wa LCV e Lwengo, George Mutabaazi, Jane ne bba  Kalasiira ab’e Kyazanga ng’emirambo giri mu ggwanika e Masaka.

Mungeri y’emu agambye nti 4 ku babadde mu Costa baalumiziddwa era batwaliddwa mu ddwaliro okufuna obujanjabi.

Eddoboozi lya Afande Lameck