AMAZIGA MU KKOOTI! Abagambibwa okuwamba n’okutta abakyala mu ggwanga baguddwako emisango emikambwe, basindikiddwa ku limanda

©GALAXY

Abasajja 6 basindikiddwa ku Limanda mu kkomera e Luzira ku by’okutta abakyala, mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo. Banno okuli Kamada Mugabe myaka (22), Olo John Bosco myaka 26, Ali Ddumba, Frank Ssendi myaka 24, Brian Kaaya ne Herbert Lukwago, basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Nsenge Roseline ow’eddala erisooka ku LDC mu Kampala, era baguddwako, emisango egyenjawulo omuli […]


Abasajja 6 basindikiddwa ku Limanda mu kkomera e Luzira ku by’okutta abakyala, mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo.

Banno okuli Kamada Mugabe myaka (22), Olo John Bosco myaka 26, Ali Ddumba, Frank Ssendi myaka 24, Brian Kaaya ne Herbert Lukwago, basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Nsenge Roseline ow’eddala erisooka ku LDC mu Kampala, era baguddwako, emisango egyenjawulo omuli egy’okutta n’okuwamba abantu.

Abamu ku bakyala abattibwa, abanokoddwayo mu kkooti kuliko Halima Rehema Nabwanika, eyawambibwa nga 24, May, 2018, okuva e Masajja mu disitulikiti y’e Wakiso, nattibwa era omulambo gwe ne gusulibwa mu nsiko.

Mungeri y’emu kigambibwa nti benyigira mu kutta omukyala Rose Nakisekka, nga 11, May, 2018, Kirinyabigo, Mutundwe mu disitulikiti y’e Kampala.

Banno 6 tebakiriziddwa kwewozaako olw’emisango gye baliko nti gyanaggomola era bonna basindikiddwa ku Limanda okutuusa ku Lwokusatu nga 11, July, 2018.