Sylvester Semakula myaka 30 asindikiddwa ku limanda mu kkomera e Luzira ku by’okulumya omusirikale n’okwagala okumugyako emmundu. Semakula yasimbiddwa mu masso g’omulamuzi ow’eddaala erisooka e Makindye mu Kampala ku Lwokutaano. Kigambibwa nga 28, June, 2018 Semakula yalumba omusirikale Osbert Tubenawe namba 67363 ku Kasawe Police Station e Nsambya obudde obw’ekiro nga yefudde eyetaaga obuyambi. Okusinzira […]
Sylvester Semakula myaka 30 asindikiddwa ku limanda mu kkomera e Luzira ku by’okulumya omusirikale n’okwagala okumugyako emmundu.
Semakula yasimbiddwa mu masso g’omulamuzi ow’eddaala erisooka e Makindye mu Kampala ku Lwokutaano.
Kigambibwa nga 28, June, 2018 Semakula yalumba omusirikale Osbert Tubenawe namba 67363 ku Kasawe Police Station e Nsambya obudde obw’ekiro nga yefudde eyetaaga obuyambi.
Okusinzira ku ludda oluwaabi, mu kiro ekyo, ekya 28, June, Semakula yagwira omusirikale okumugyako emmundu kyoka yataasibwa musirikale munne.
Semakula yakwatibwa ne bamugalira ku Poliisi y’e Kabalagala, omusango ku fayiro namba SD. REF 04/28/06/2018 era yasindikiddwa ku Limanda mu kkomera e Luzira.