HAKUNA MUCHEZO! Okulwanyisa endwadde mu bantu, Pulezidenti Museveni abakutidde okujjumbira dduyiro

©GALAXY

Ssentebbe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni, akubiriza abantu okujjumbira okukola dduyiro kuba kyakuyamba nnyo okulwanyisa endwadde ezenjawulo omuli Kansa, Ssukaali, Puleesa n’endwadde endala. Museveni bwe yabadde ayogerako eri abantu abasobodde okwetaba ku bikujjuko bya dduyiro ku lunnaku olukuzibwa buli sabiti ey’okubiri ku Ssande omweezi Ogwomusanvu nga lwatongozeddwa […]


Ssentebbe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni, akubiriza abantu okujjumbira okukola dduyiro kuba kyakuyamba nnyo okulwanyisa endwadde ezenjawulo omuli Kansa, Ssukaali, Puleesa n’endwadde endala.

Museveni bwe yabadde ayogerako eri abantu abasobodde okwetaba ku bikujjuko bya dduyiro ku lunnaku olukuzibwa buli sabiti ey’okubiri ku Ssande omweezi Ogwomusanvu nga lwatongozeddwa olunnaku olw’eggulo mu kisaawe e Kololo, yalabudde nti dduyiro, yasinga mu kulwanyisa endwadde ezebika ebyenjawulo.

Pulezidenti Museveni era  yakubiriza abasirikale obutasulirira dduyiro kuba balina okuba ffiiti ennyo okusobola okutambuza emirimu.

Museveni yakulembeddemu abantu okutambula 10.5KM kuba agamba nti abantu 13% bafa mu Uganda nga kivudde ku bubenje, 9% ndwadde z’emitima, 5% Kansa, 3% ssukkali, 10% ndwadde endala omuli sickle cells.

Ate Dr. John Omangino, akulira eddwaliro ly’emitima, mu ggwanga lino erya Uganda Heart Institute, alopedde Pulezidenti Museveni nti abantu balya nnyo n’okunywa ne batakola dduyiro ekiwadde endwadde omwaganya okubasensera.