Omulamuzi Mary Babirye owa Buganda Raod enkya ya leero, lw’agenda okusalira ekibonerezo omuwala Lilian Rukundo ku misango egisukka mu 10 egyamuguddwako. Rukundo muyizi ku Uganda Christian University (UCU) era sabiti ewedde ku Mmande, yasingisiddwa emisango 10 egy’okusasaanya obuseegu n’okweyambisa kompyuta mu ngeri emenya amateeka. Okusinzira ku ludda oluwaabi, mu 2017 Rukundo ng’asinzira mu Hositeero mu […]
Omulamuzi Mary Babirye owa Buganda Raod enkya ya leero, lw’agenda okusalira ekibonerezo omuwala Lilian Rukundo ku misango egisukka mu 10 egyamuguddwako.
Rukundo muyizi ku Uganda Christian University (UCU) era sabiti ewedde ku Mmande, yasingisiddwa emisango 10 egy’okusasaanya obuseegu n’okweyambisa kompyuta mu ngeri emenya amateeka.

Okusinzira ku ludda oluwaabi, mu 2017 Rukundo ng’asinzira mu Hositeero mu disitulikiti y’e Mukono, yateeka vidiyo ku mutimbagano gwa ‘facebook’ nga yeekuba akasabuuni n’ekigendererwa eky’ okusabbalazza abaami.
Rukundo y’omu, yateeka ebifaananyi bye ng’ali bukunya okuva ku mabeere okutukira ddala ku bigere era ku mutimbagano gwa ‘facebook’, era sabiti ewedde mu kkooti Rukundo yakiriza byona.
Omulamuzi yamusindika ku Limanda mu kkomera e Luzira, okutuusa olunnaku olwaleero, lw’agenda okudda mu kkooti, okumusalira ekibonerezo ekimugwanidde.