Poliisi mu Kampala ekutte abantu abasuuka mu 1000 okuva mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo, abateberezebwa okwenyigira mu kutigomya abantu. Ekikwekweeto ekyakoleddwa ku Lwokusatu lwa sabiti eno ekiro nga 11, July, 2018, kati abantu abasukka mu 2,321 bebakakwatibwa mu banga lwa sabiti 6 zokka. Okusinzira kw’adduumira Poliisi mu Kampala n’emirirwano CP Moses Kafeero, obubbi bubadde busukkiridde […]
Poliisi mu Kampala ekutte abantu abasuuka mu 1000 okuva mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo, abateberezebwa okwenyigira mu kutigomya abantu.
Ekikwekweeto ekyakoleddwa ku Lwokusatu lwa sabiti eno ekiro nga 11, July, 2018, kati abantu abasukka mu 2,321 bebakakwatibwa mu banga lwa sabiti 6 zokka.

Okusinzira kw’adduumira Poliisi mu Kampala n’emirirwano CP Moses Kafeero, obubbi bubadde busukkiridde mu bitundu bye Kampala ebyenjawulo n’okusingira ddala ku nguudo nga banyakula ensawo z’abakyala, essimu n’ebintu ebirala okuva ku basuubuzi n’abatambuze.

Kafeero agamba nti ebikwekweeto bikyagenda mu maaso okutuusa nga ng’abantu bonna abakyamu abatigomya Bannakampala bakwatiddwa.
