Bya Nakaayi Rashidah Bannakibiina kya Democratic Party (DP) bekokodde ekibiina kya Forum for Democratic Change (FDC), okukola enkyukakyuka eri obukulembeze bwa Paalamenti ng’ebibiina bwe bavuganya gavumenti tebeebuziddwaako. Okusinzira ku Ssabawandiisi w’ekibiina kya DP Gerald Siranda, okulonda omuntu yenna ku ludda oluvuganya Gavumenti mu Palamenti, ebibiina byona bitekeddwa okwebuzibwako okusalawo omuntu omutuufu agenda okuyamba ababaka bonna […]
Bya Nakaayi Rashidah
Bannakibiina kya Democratic Party (DP) bekokodde ekibiina kya Forum for Democratic Change (FDC), okukola enkyukakyuka eri obukulembeze bwa Paalamenti ng’ebibiina bwe bavuganya gavumenti tebeebuziddwaako.
Okusinzira ku Ssabawandiisi w’ekibiina kya DP Gerald Siranda, okulonda omuntu yenna ku ludda oluvuganya Gavumenti mu Palamenti, ebibiina byona bitekeddwa okwebuzibwako okusalawo omuntu omutuufu agenda okuyamba ababaka bonna mu Palamenti.

Siranda mu kwogerako eri bannamawulire ku offiisi zabwe mu Kampala, agamba nti DP erina ababaka 16 ng’aba FDC bali nga mu asatu n’olwekyo ky’ekibiina ekivuganya gavumenti ekidirira obunene mu palamenti, FDC yabadde erina okubebuzaako.

Sabiti ewedde ku Lwokutaano nga 3, August, 2018, Pulezidenti w’ekibiina kya FDC Amuriat Oboi Patrick yakyusa obukulembeze obwenjawulo mu Palamenti omuli Winnie Kiiza okukyusibwa ku ky’oludda oluvuganya gavumenti nasikizibwa Betty Oal Ocan n’abalala abakyusibwa.