BAWEDDE! Abasajja babiri bakwatiddwa ku by’okuwamba n’okubira mu takisi

©GALAXY

Poliisi mu Kampala ekutte Takisi ebadde yeyambisibwa abantu abakyamu okukola ebikolobero. Takisi namba UBB 724M yakwatiddwa ku wikendi e Bweyogerere n’abasajja babiri (2) ku by’okuwamba abaana babiri (2)  n’ekigendererwa eky’okusaba ssente okuva mu bazadde. Hajji Musa Muliika, taata w’abaana ababadde bawambiddwa okuva ku kyalo Kigandazi Zone e Bweyogerere, yaduukidde ku Poliisi y’e Bweyogerere okutegeeza abasirikale […]


Poliisi mu Kampala ekutte Takisi ebadde yeyambisibwa abantu abakyamu okukola ebikolobero.

Takisi namba UBB 724M yakwatiddwa ku wikendi e Bweyogerere n’abasajja babiri (2) ku by’okuwamba abaana babiri (2)  n’ekigendererwa eky’okusaba ssente okuva mu bazadde.

Hajji Musa Muliika, taata w’abaana ababadde bawambiddwa okuva ku kyalo Kigandazi Zone e Bweyogerere, yaduukidde ku Poliisi y’e Bweyogerere okutegeeza abasirikale  nti abaana bawambiddwa.

Maama n'abaana
Maama n’abaana

Abakwatiddwa, babadde batandiise okusaba abazadde ssente obukadde 3 era babakwatidde Kireka.

Akulira Poliisi y’e Bweyogerere ASP Mike Mugabe agambye nti abakwate batwaliddwa ku Poliisi y’e Kira ku misango gy’okuwamba era bakyagenda mu maaso n’okubuuliriza ku nsonga eyo.