ENKYUKAKYUKA MU FDC! Anita Among alemedde ku kakiiko ka COSASE, alabudde Amuriat okumwesonyiwa

©GALAXY

Omubaka omukyala owa Distulikiti ye Bukedea mu Paalamenti, era nga yabadde omumyuka ku kakiiko akalondoola ebitongole bya gavumenti (COSASE), Anita Among ategeezeza nga bwatagenda kuva ku kakiiko kano mu kyukakyuka ezaakoleddwa Pulezidenti w’ekibiina kya Forum for Democratic Change (FDC), Amuriat Oboi Patrick sabiti ewedde ku kitebe ky’ekibiina e Najanankumbi. Among agamba nti ye alina okumaliriza […]


Omubaka omukyala owa Distulikiti ye Bukedea mu Paalamenti, era nga yabadde omumyuka ku kakiiko akalondoola ebitongole bya gavumenti (COSASE), Anita Among ategeezeza nga bwatagenda kuva ku kakiiko kano mu kyukakyuka ezaakoleddwa Pulezidenti w’ekibiina kya Forum for Democratic Change (FDC), Amuriat Oboi Patrick sabiti ewedde ku kitebe ky’ekibiina e Najanankumbi.

Among agamba nti ye alina okumaliriza ekisanja kye , nga ebyakoleddwa Pulezidenti Amuriat tebimukwatako.

Anita Among nga mu paalamenti aliyo ku bwa nnamunigina (Independent) era yalondebwa Mugisha Muntu okubeera ku kakiiko ka COSASE, bwe yali akyali Pulezidenti wa FDC.

Mugisha Muntu
Mugisha Muntu

Mungeri y’emu agambye nti FDC terina buyinza kumugyako bukulembeze era Amuriat alina kukyusa ababaka ba FDC bokka era talina buyinza ku babaka okuva mu bibiina ebirala oba abesimbawo ku bwa nnamunigina.

Okubetinga ne Kagwirawohttps://www.kagwirawo.co.ug//

MU nkyukakyuka FDC ze yakoze ku bifo bya Palamenti, abantu bonna abaawagira Mugisha Muntu baabasudde ne bassaawo abaalwanirira ennyo Dr. Kizza Besigye era nga baawagira ne Patrick Oboi Amuriat ku bwapulezidenti bw’ekibiina.

Amuriat Oboi Patrick
Amuriat Oboi Patrick

Angelina Osege (ow’akakiiko ka PAC), Abdu Katuntu (ow’akakiiko ka COSASE), Anita Among, Reagan Okumu (ow’akakiiko ka LGAC) bonna baawagira Muntu ng’attunka ne Amuriat era bonna baabeeze.

Mu nkyukakyuka zino, awabadde Abdu Katuntu baataddewo Mubarak Munyagwa “Mugaati gwa Bbata” ng’amyukibwa Moses Kasibante owa Lubaga North.

Mu baasuuliddwa abalala kuliko; Cecilia Ogwal abadde kaminsona ku lukiiko olufuzi olwa Palamenti, Gerald Karuhanga abadde amyuka Reagan Okumu ku kakiiko akanoonyereza ku ssente ezikozesebwa Gavumenti ez’ebitundu (LGAC).