ANI ADDAKO! Okuttibwa kwa Kirumira, Lukwago alabudde Museveni okomya okuyita abatemu embizzi

©GALAXY

Omuloodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago alabudde nti Muhammad Kirumira okutibwa, kabonero akalaga nti Gavumenti ya Pulezidenti Yoweri Museveni eremeddwa okunyweza ebyokwerinda mu ggwanga lino. Lukwago agamba nti abantu bangi battiddwa mu ngeri y’emu omuli bannadiini, bannabyabufuzi, bannamateeka, abasirikale abalina emmundu, kati buli omu yebuuza ani addako okuttibwa?. Mungeri y’emu asabye Pulezidenti Museveni akirize nti […]


Omuloodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago alabudde nti Muhammad Kirumira okutibwa, kabonero akalaga nti Gavumenti ya Pulezidenti Yoweri Museveni eremeddwa okunyweza ebyokwerinda mu ggwanga lino.

Lukwago agamba nti abantu bangi battiddwa mu ngeri y’emu omuli bannadiini, bannabyabufuzi, bannamateeka, abasirikale abalina emmundu, kati buli omu yebuuza ani addako okuttibwa?.

 Erias Lukwago n'omugenzi Muhammad Kirumira

Erias Lukwago n’omugenzi Muhammad Kirumira

Mungeri y’emu asabye Pulezidenti Museveni akirize nti embeera atabuse kuba abantu bangi battiddwa n’okomya okuvuma abatemu ebigambo ebisongovu omuli embizzi kuba bongera kunyiga n’okutta abantu abatalina musango gwona.

Wabula minisita w’eby’empuliziganya mu ggwanga Frank Tumwebaze akowodde abantu bonna okwegata okulwanyisa  ebikolobero omuli ettemu kuba ebyobufuzi tebiyinza kuyamba ng’abantu battibwa.