MULI MBIZZI! Museveni akambuwadde, ayogedde abantu abasse Kirumira, afulumiza ekiwandiiko ekikambwe

©GALAXY

Kyaddaki omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo ku ttemu eryakoleddwa ku Muhammad Kirumira olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga. Museveni agamba nti abatemu abatta abantu mu ggwanga lino bakyeyambisa enkola enkadde okutambulira ku bodaboda. Agamba nti okuteeka Kamera mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo n’okuddamu okuwandiisa bodaboda nga beyambisa tekinologye, kigenda kuyamba nnyo okulwanyisa ebikolwa ebyo. Mungeri y’emu […]


Kyaddaki omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo ku ttemu eryakoleddwa ku Muhammad Kirumira olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga.

Museveni agamba nti abatemu abatta abantu mu ggwanga lino bakyeyambisa enkola enkadde okutambulira ku bodaboda.

Omugenzi Muhammad Kirumira
Omugenzi Muhammad Kirumira

Agamba nti okuteeka Kamera mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo n’okuddamu okuwandiisa bodaboda nga beyambisa tekinologye, kigenda kuyamba nnyo okulwanyisa ebikolwa ebyo.

Mungeri y’emu asiimye aba bodaboda mu bitundu bye Bulenga abagobye abatemu, amangu ddala nga bakamala okutta Kirumira nti basobodde okuyambako wadde abakyamu basobodde okudduka.

Pulezidenti Museveni asuubiza okukomyawo enkola y’olutalo eyali mu bitundu bye Luweero okusobola okukwata abatemu baagamba nti embizzi.