REST IN PEACE! Tusabukuludde ensonga 10 lwaki Afande Kirumira abadde wa tutumu nnyo ku basirikale abalala

©GALAXY

Afande Kirumira Muhammad yattiddwa olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaagamu nga bava ku mukolo gw’okwanjula e Nsangi ng’adda e Bulenga mu maka ge nga yakubiddwa amasasi ne bamutwala mu ddwaaliro e Lubaga kyoka oluvanyuma yalangiriddwa nti afudde. Mu mmotoka namba UAJ 228V, Afande Kirumira yabaddemu n’omuwala ategerekeseko erya Rasty era naye yatiddwa. Bibino ebifudde Afande Kirumira owenjawulo […]


Afande Kirumira Muhammad yattiddwa olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaagamu nga bava ku mukolo gw’okwanjula e Nsangi ng’adda e Bulenga mu maka ge nga yakubiddwa amasasi ne bamutwala mu ddwaaliro e Lubaga kyoka oluvanyuma yalangiriddwa nti afudde.

Mu mmotoka namba UAJ 228V, Afande Kirumira yabaddemu n’omuwala ategerekeseko erya Rasty era naye yatiddwa.

Emmotoka mwe bamutidde
Emmotoka mwe bamutidde

Bibino ebifudde Afande Kirumira owenjawulo mu kitongole kya Poliisi

1 – Kirumira yaweerereza ku poliisi ya Old Kampala ng’alina ejjinja limu we baamuggya okumuteeka ku poliisi ku kisaawe e Nakivubo okutambuza emirimu.

2 – Ku poliisi ku kisaawe kye Nakivubo, yakolawo okumala ekiseera ne bamuzzaayo ku Old Kampala.

3 – Yalinnyisibwa ku ddaala ne bamusindika e Nakulabye n’akaabya ababbi era eno yavaayo nga yeekokkola nti abagaba ebicupuli bamulimiridde mu bakama be ne bamukyusa.

4 – Yasindikibwa e Kikaaya eno gye yataayiriza abavubuka ba Kasolo group era ajjukirwa ng’avuga akagaali ku Northern Bypass ng’agoba ababbi okwatibwa era abatuuze bamwagala nnyo.

5 – Oluvannyuma yasindikibwa e Nansana, okuvaayo ng’ababbi bamwasimula bugolo ne bamuzza mu Kisenyi ku poliisi ya Muzaana.

6 – Oluvannyuma yaddizibwa e Nansana kyokka eno yafunirayo ebizibu ne bamuggalira era yasinziira mu kaduukulu e Nsambya n’ayogera n’abaamawulire ku ssimu ensonga ezenjawulo.

7 – Baamusindika n’addayo okutendekebwa e Jinja olwavaayo ne bamusindika e Kasese ku nsalo ya Uganda ne Congo.

8 – Yakomezebwawo mu Kampala ng’afunye amayinja asatu n’afuulibwa omuduumizi wa poliisi ya old Kampala gye baamuggye okumutwala e Buyende.

9 – Poliisi yamuggulako emisango egyenjawulo n’akwatibwa n’aggalirwa e Nalufenya. Oluvannyuma emisango egisinga gyamuggyibwako era abadde akyogera lunye nti ye tajja kudda mu poliisi agenda kuyingira byabufuzi, agende mu Paalamenti.

Gen Kale Kayihura n'omugenzi Afande Kirumira
Gen Kale Kayihura n’omugenzi Afande Kirumira

10 – Abadde musajja awakanya emirimu gya Poliisi nti mulimu abasirikale abakyamu era Omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni mu kukyusa Gen Kale Kayihura namusikiza Okoth Ochola okuddumira Poliisi yasanyuka nnyo.