Omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala Flavia Senoga awaliriziddwa okwongezaayo omusango oguvunanibwa omugagga w’ekibanda ekitunda emmotoka ekya Pine, Muhammed Ssebuufu, okutuusa nga 4, Desemba, nga kivudde ku mbeera ebadde mu kkooti enkya ya leero. Ssebuufu abadde, eteekeddwa okutandiika okwewozaako enkya ya leero, kyoka mu kkooti, ategezeeza omulamuzi nti yetaaga obudde okwetekateeka obulungi. Omulamuzi avudde mu […]
Omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala Flavia Senoga awaliriziddwa okwongezaayo omusango oguvunanibwa omugagga w’ekibanda ekitunda emmotoka ekya Pine, Muhammed Ssebuufu, okutuusa nga 4, Desemba, nga kivudde ku mbeera ebadde mu kkooti enkya ya leero.
Ssebuufu abadde, eteekeddwa okutandiika okwewozaako enkya ya leero, kyoka mu kkooti, ategezeeza omulamuzi nti yetaaga obudde okwetekateeka obulungi.

Omulamuzi avudde mu mbeera era atabukidde Ssebuufu okulemesa kkooti okutuula n’ekigendererwa eky’okusigala ng’akyateeberezebwa.
Embeera eyo, eviriddeko enjuyi zombi okuli oluwawabirwa n’oluwaabi, okutuula era bakiriziganyiza omusango okuddamu, Ssebuufu okutandiika okwewozaako okuva nga 4, 5 ne 6 Desemba, 2018, amyuka omuwandiisi wa kkooti Jamson Karemani ky’akirizza.

Ssebuufu avunaanibwa ogw’okutta omusuubuzi Donah Katushabe n’okubba essimu ye ebalirirwamu 300,000/-.
Kigambibwa nti yali abanja Katushabe obukadde mwenda oluvannyuma lw’okumuguza emmotoka.
Oludda oluwaabi lwaleeta abajulizi 20 era Ssebuufu yalindiriddwa okwewozaako.
Kigambibwa nti nga 12, October, 2015, ku kibanda kya Pine ku Lumumba Avenue, Katushabe yakwatibwa bakanyama ba Ssebuufu ne bamutwala mu kiyumba ekimanyiddwa nga ‘Safe house’ mwe bamutulugunyiza okutuusa lwe yafa ng’entabwe eva ku bbanja.