Munnansi wa Pakistani akwatiddwa ku by’okusobya ku mwana, namutikka n’olubuto

©GALAXY

Poliisi y’e Kiboko ekutte munnansi wa Pakistani ku by’okusobya ku kawala k’emyaka 15. Abdul Majid myaka 25 yakwatiddwa ku by’okusobya ku muwala abadde omukozi w’awaka (maid) myaka 15 namutikka n’olubuto ku kyalo Gaga cell, Upper ward mu disitulikiti y’e Koboko era ssentebbe w’ekyalo Anyokonga mu ggoombolola y’e Abuku, Adaba Bran yeyategezeza ku Poliisi. Okusinzira ku […]


Poliisi y’e Kiboko ekutte munnansi wa Pakistani ku by’okusobya ku kawala k’emyaka 15.

Abdul Majid myaka 25 yakwatiddwa ku by’okusobya ku muwala abadde omukozi w’awaka (maid) myaka 15 namutikka n’olubuto ku kyalo Gaga cell, Upper ward mu disitulikiti y’e Koboko era ssentebbe w’ekyalo Anyokonga mu ggoombolola y’e Abuku, Adaba Bran yeyategezeza ku Poliisi.

Okusinzira ku batuuze, omwana abazadde bonna baafa ng’akyali muto nawanduka mu ssomero, kwekusalawo okunoonya ssente okwebezaawo kyokka bewunyiza okumulaba ng’ali lubuto.

Omwana agamba nti omusajja Majid yamusendasenda ng’amusubiza okumubikirira oluvanyuma namutikka n’olubuto.
Majid yasimbiddwa mu kkooti era yasindikiddwa ku limanda mu kkomera lya Gavumenti erya Bukutu e Koboko ku misango gy’okujjula ebitanajja.