Pulezidenti w’ekibiina kya JEEMA Asuman Basalirwa akangudde ku ddoboozi ku nsonga z’omubaka w’e Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu, amanyikiddwa nga Bobi Wine okumulemesa okufuna ssente. Basalirwa agamba nti Poliisi eremeseza Bobi Wine okuyimba mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo era abantu bangi nnyo bafiriddwa ssente zabwe. Bw’abadde mu lukungana lw’omukago gw’ebibiina ebingi ogwa Inter Party Organisation for […]
Pulezidenti w’ekibiina kya JEEMA Asuman Basalirwa akangudde ku ddoboozi ku nsonga z’omubaka w’e Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu, amanyikiddwa nga Bobi Wine okumulemesa okufuna ssente.
Basalirwa agamba nti Poliisi eremeseza Bobi Wine okuyimba mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo era abantu bangi nnyo bafiriddwa ssente zabwe.

Bw’abadde mu lukungana lw’omukago gw’ebibiina ebingi ogwa Inter Party Organisation for Dialogue (IPOD) e Munyonyo ogwetabiddwamu abakulembeze b’ebibiina omuli Norbert Mao owa Democratic Party (DP), Jimmy Akena owa Uganda People’s Congress (UPC), Basalirwa ategezeza Pulezidenti Museveni nti Uganda okulakulana, abantu balina okusigaza eddembe lyabwe kuba kiswaza Poliisi okulemesa Bobi Wine okuyimba ate ng’alina okunoonya ssente okwebezaawo.
Mungeri y’emu agambye nti kiswaza Poliisi okukwata abantu nga terina bujjulizi kuba kityoboola eddembe ly’obuntu.
Basalirwa agamba nti Poliisi erina okunoonyereza ku buli muntu yenna nga tanakwatibwa.