YOU ARE NOTHING! Bebe Cool azizza omuliro eri Bobi Wine, amulangidde buli kimu, aba People Power balidde obuwuka

©GALAXY

Omuyimbi Bebe Cool alabudde abe’kisinde kya ‘People Power’ okukomya okulowooza nti mu Uganda bebalina buli kimu omuli n’obuwagizi. Bebe Cool bw’abadde ayogerako eri bannamawulire e Kololo agambye nti waliwo bannayuganda n’okusingira ddala aba People Power, abakuunga abantu okulonda Diamond Platnumz owa Tanzania, okusobola okuwangula ‘Award’ ya Afrima ng’omuyimbi asinga mu East Africa kyokka bannayuganda bagyemera […]


Omuyimbi Bebe Cool alabudde abe’kisinde kya ‘People Power’ okukomya okulowooza nti mu Uganda bebalina buli kimu omuli n’obuwagizi.

Bebe Cool bw’abadde ayogerako eri bannamawulire e Kololo agambye nti waliwo bannayuganda n’okusingira ddala aba People Power, abakuunga abantu okulonda Diamond Platnumz owa Tanzania, okusobola okuwangula ‘Award’ ya Afrima ng’omuyimbi asinga mu East Africa kyokka bannayuganda bagyemera okusaba kwabwe.

Mungeri y’emu agambye nti ye (Bebe Cool) ebintu by’akola omuli okuyamba abantu n’okusingira ddala abaana abato abalwadde b’emitima, bangi ku bannayuganda babisiima era y’emu ku nsonga lwaki alina obuwagizi bungi nnyo n’okusingira ddala mu kisaawe ky’okuyimba.

Bebe Cool and Bobi Wine
Bebe Cool and Bobi Wine

Bebe Cool mu ngeri y’okulumbagana muyimbi munne Bobi Wine, agambye nti tanoonya bululu ng’abalala nga yegula mu bantu kuba ye alina omutima omulungi okuyamba abantu abali mu buzibu.

Gye buvuddeko munnakatemba Kabata yategeeza nti mu Uganda Bebe Cool yasinga omutima omulungi mu bayimbi kuba asobodde okuyamba abantu abenjawulo ku ssente zakungaanya mu bivvulu kyokka Bobi Wine mu kivvulu ky’oluyimba Kyarenga, tewali muntu yenna yayimbibwa.

Ku mulundi gunno, Bebe Cool asuubiza okuyamba abaana abasukka 200 ne ‘School Fees’ ku ssente ezinaava mu kivvulu kye ‘Tondeka e Kiwatule’ ku Boxing Day nga 26, December, 2018.