Oluyimba lw’okunoonyereza tulukooye, Ssaabasajja Kabaka atabukidde Poliisi mu bubaka bwe obwa Ssekukkulu

©GALAXY

SSABASAJJA Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asabye bekikwatako okwongera amaannyi mu kunoonyereza okusobola okulwanyisa obuli bw’enguzi mu ggwanga lino. Mu bubaka bwe obw’Amazaalibwa ga Yesu obwafulumiziddwa ofiisi ye olunnaku olw’eggulo ku Ssande nga 23, December, 2018, Kabaka yagambye nti oluyimba lw’okunoonyereza tulukooye era ebitongole biteekeddwa okuteeka mu nkola kye bateekeddwa okukola. SK OMUZINNYI


SSABASAJJA Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asabye bekikwatako okwongera amaannyi mu kunoonyereza okusobola okulwanyisa obuli bw’enguzi mu ggwanga lino.
Mu bubaka bwe obw’Amazaalibwa ga Yesu obwafulumiziddwa ofiisi ye olunnaku olw’eggulo ku Ssande nga 23, December, 2018, Kabaka yagambye nti oluyimba lw’okunoonyereza tulukooye era ebitongole biteekeddwa okuteeka mu nkola kye bateekeddwa okukola.