Ssentebbe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni alabudde abakulembeze abakulembeddemu okulemesa Gavumenti okutambuza emirimu okwaddako mu bwangu. Museveni agamba nti abakulembeze bangi mu ggwanga lino, abalina ekigendererwa eky’okutabangula eggwanga nga basasaanya ebigambo by’obukyayi, ekintu ekimenya amateeka n’okuswaza abakulembeze. Mungeri y’emu agambye nti ng’akyali mu buyinza, tewali muntu yenna […]
Ssentebbe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni alabudde abakulembeze abakulembeddemu okulemesa Gavumenti okutambuza emirimu okwaddako mu bwangu.
Museveni agamba nti abakulembeze bangi mu ggwanga lino, abalina ekigendererwa eky’okutabangula eggwanga nga basasaanya ebigambo by’obukyayi, ekintu ekimenya amateeka n’okuswaza abakulembeze.
Mungeri y’emu agambye nti ng’akyali mu buyinza, tewali muntu yenna ayinza kutabangula mirembe giri mu Uganda era abakulembeze bwe batyo balina okukyuusa endowooza yabwe.
Museveni okulabula abadde ategeezza eggwanga ebitukiddwako mu mwaka omukadde ogwa 2018 mu makaage e Rwakitula n’okwagaliza bannayuganda omwaka omuggya ogwa 2019 sako n’okulambulula ebyo, ebigenda okukolebwa okulakulanya eggwanga lino n’okusingira ddala okulwanyisa obwavu.
Museveni era alabudde abakulembeze okulinda akaseera akatuufu mu kiseera kya Kampeyini, okudda mu by’obufuzi, okusinga okweyambisa akaseera kano, okutatana Gavumenti n’ebyo ebikoleddwa.
Kinajjukirwa nti sabiti ewedde Minisita w’obutebenkevu Gen. Elly Tumwine yategeezezza nti Bobi Wine atandiise okukopa enkola ya Dr Kizza Besigye eyali Pulezidenti wa Forum for Democratic Change (FDC) okulemesa pulogulamu za Gavumenti n’okutumbula enkola ya ‘Defiance’ era y’emu ku nsonga lwaki Poliisi yakwongera okumulemesa okuyimba mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo singa takyusa nkola ye.