Poliisi ekutte abantu bana (4) ku by’okutta omuntu mu disitulikiti y’e Mubende. Abakwattiddwa, bateberezebwa okwenyigira mu kutta ssemaka Yusufu Sabiiti abadde akunukiriza emyaka 60 era omulambo gwe gwasangiddwa mu nsiko, akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo. Omulambo gwasangiddwako ebiwundu ku mutwe, mikono ne ku lubuto. Abakwate kuliko Nanwandu Jovia Kekibinga n’abaana Innocent Tukwasibwe ne Pricilla Ogujju n’omukozi w’awaka […]
Poliisi ekutte abantu bana (4) ku by’okutta omuntu mu disitulikiti y’e Mubende.
Abakwattiddwa, bateberezebwa okwenyigira mu kutta ssemaka Yusufu Sabiiti abadde akunukiriza emyaka 60 era omulambo gwe gwasangiddwa mu nsiko, akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo.
Omulambo gwasangiddwako ebiwundu ku mutwe, mikono ne ku lubuto.
Abakwate kuliko Nanwandu Jovia Kekibinga n’abaana Innocent Tukwasibwe ne Pricilla Ogujju n’omukozi w’awaka ategerekeseko erya Alex.
Wabula ku Poliisi, omu ku baana abakwattiddwa Tukwasibwe, agambye nti basobodde okweyambisa enkumbi n’akatayimbwa okutta kitaabwe mu kisenga mwabadde asula kuba yabadde alameddeko okutunda ekitundu ku ttaka lya famire.
Tukwasibwe era agambye nti ye n’omukozi w’awaka Alex basobodde okutwala omulambo mu kibira gye gwasangiddwa, ate abasigadde awaka nga bakulembeddwamu Nanwandu basobodde okulongoosa ennyumba era ebintu okwabadde omusaayi omuli engoye, omufaliso, enkumbi n’akatayimbwa byasuliddwa mu kabuyonjo.
Okusinzira kw’adduumira Poliisi y’e Mubende Martin Okyo, omulambo gwazuliddwa mu kibira, ebizibiti byasimiddwaayo mu kabuyonjo, abakwate bali ku Poliisi y’e Mubende ku misango gy’obutemu era essaawa yonna, bakutwalibwa mu kkooti.