Omuyimbi Sheebah Kalungi akyamudde abantu ku Pearl of Africa mu Kampala nga bayingira omwaka omuggya ogwa 2019 ekkiro ekikeseza olunaku lwa leero era bangi bakakasiza nti omwana alina Work mu kisaawe ky’okuyimba. Sheebah yalinye ku siteegi nga zikunukiriza okuwera ssaawa 6 ez’ekiro okuyingira omwaka 2019 ng’ali mu kagoye akalaga ebithambi, okumyumyula kandaka n’obutuliro era obwedda […]
Omuyimbi Sheebah Kalungi akyamudde abantu ku Pearl of Africa mu Kampala nga bayingira omwaka omuggya ogwa 2019 ekkiro ekikeseza olunaku lwa leero era bangi bakakasiza nti omwana alina Work mu kisaawe ky’okuyimba.
Sheebah yalinye ku siteegi nga zikunukiriza okuwera ssaawa 6 ez’ekiro okuyingira omwaka 2019 ng’ali mu kagoye akalaga ebithambi, okumyumyula kandaka n’obutuliro era obwedda azzina akunamira abantu.
Abamu ku basajja obwedda bagamba nti omwana alina Work era kirabika anyumisa akazannyo bwekituuka mu kaboozi era bangi balabiddwako nga bayiika endusu olwa Sheebah okuzina amazima agasomooza abaami.
Sheebah yasobodde okuyimba ennyimba ezenjawulo era bambi yakyamudde nnyo abadigize.