WULIRA EDDOBOOZI! Lydia Jazmine yegase ku Rema Namakula okulwanirira Kenzo, ayogedde obugambo obujjudde obuwoomi

©GALAXY

Omuyimbi Lydia Jazmine yegase ku bayimbi abalala okowoola bannayuganda bonna okuwagira Eddy Kenzo olunnaku olwaleero ku Serena Hotel mu Kampala. Kenzo leero ajjaguza okuweza emyaka 10 mu kisaawe ky’okuyimba era yetegese okuyimba ennyimba ezenjawulo n’okutegeza bannayuganda ‘Award’ zawangudde mu myaka 10. Wadde abamu ku bannayuganda bagamba nti Kenzo ne Jazmine beyagala, tewali kimulemeseza kusaba bannayuganda […]


Omuyimbi Lydia Jazmine yegase ku bayimbi abalala okowoola bannayuganda bonna okuwagira Eddy Kenzo olunnaku olwaleero ku Serena Hotel mu Kampala.

Kenzo leero ajjaguza okuweza emyaka 10 mu kisaawe ky’okuyimba era yetegese okuyimba ennyimba ezenjawulo n’okutegeza bannayuganda ‘Award’ zawangudde mu myaka 10.

Wadde abamu ku bannayuganda bagamba nti Kenzo ne Jazmine beyagala, tewali kimulemeseza kusaba bannayuganda bonna okuwagira Kenzo olunnaku olwaleero.

Rema Namakula
Rema Namakula

Jazmine yegase ku bayimbi abalala omuli mukyala wa Kenzo, Rema Namakula, Juliana Kanyomozi, Mesach Semakula, Ykee Benda n’abalala.