BAMBI! Ensonga za Bebe Cool ne Bobi Wine okwegwa mu kifuba zitabudde Barbie, aba People Power bogedde

©GALAXY

Ensonga za Bebe Cool ne Bobi Wine okwegwa mu kafuba ku Lwokutaano mu kivvulu kya Eddy Kezno ku Serena Hotel zikyatabudde abantu bangi ddala kuba bannayuganda bonna babadde tebakisuubira. Abamu ku bayimbi omuli Jose Chameleone bagamba nti embeera eyabaddewo, kabonero kalungi nnyo okulakulanya ekisaawe ky’okuyimba olw’abayimbi okwegatta. Wabula abamu ku badigize ababadde mu kivvulu, bagamba […]


Ensonga za Bebe Cool ne Bobi Wine okwegwa mu kafuba ku Lwokutaano mu kivvulu kya Eddy Kezno ku Serena Hotel zikyatabudde abantu bangi ddala kuba bannayuganda bonna babadde tebakisuubira.
Abamu ku bayimbi omuli Jose Chameleone bagamba nti embeera eyabaddewo, kabonero kalungi nnyo okulakulanya ekisaawe ky’okuyimba olw’abayimbi okwegatta.


Wabula abamu ku badigize ababadde mu kivvulu, bagamba nti wadde Bebe Cool yazeemu okusisinkana Bobi Wine oluvanyuma lw’emyaka egigenda 10, mukyala wa Bobi, Kyagulanyi Barbie Itungo embeera yamutabuseeko.


Okusinzira ku ndabika ya Barbie mu bifaananyi, kiraga nti teyasanyukidde bba kugwa mu kafuba ka Bebe Cool.
Barbie tanaba kuvaayo kwogera ku nsonga eyo, era bannayuganda bamulindiridde kyokka abamu ku bawagizi be Bobi Wine mu kisinde ekya People Power bogedde ebikankana.