Omuyimbi Ronald Magada amanyikiddwa nga Maro akomyewo nankuba mpya okuddamu okuyugumya ekisaawe ky’okuyimba mu ggwanga lino. Bangi ku bannayuganda babadde bebuuza lwaki Maro asirise nnyo kyokka bw’abadde awayamu naffe abikudde ebyama lwaki abadde talabika nnyo. Maro agamba nti abadde mu situdiyo okuva omwaka oguwedde ogwa 2018 era asobodde okuyimba ennyimba ezisukka 20 n’abayimbi abenjawulo omuli […]
Omuyimbi Ronald Magada amanyikiddwa nga Maro akomyewo nankuba mpya okuddamu okuyugumya ekisaawe ky’okuyimba mu ggwanga lino.
Bangi ku bannayuganda babadde bebuuza lwaki Maro asirise nnyo kyokka bw’abadde awayamu naffe abikudde ebyama lwaki abadde talabika nnyo.
Maro agamba nti abadde mu situdiyo okuva omwaka oguwedde ogwa 2018 era asobodde okuyimba ennyimba ezisukka 20 n’abayimbi abenjawulo omuli bannansi ba Tanzania, Kenya n’amawanga amalala ssaako ne bannayuganda omuli Rema Namakula, Lilian Mbabazi, Navio n’abalala.
Olw’embeera eyo, Maro agamba nti ategese akabaga okusabukulula ennyimba zonna ku Sky Lounge, Kisementi mu maaso ga Acacia Mall mu Kampala ku nga 17, January, 2019 okulaga abantu kyabadde afumba.