Omuyimbi Eddy Kenzo ayongedde okunyweza obufumbo bwe n’omukyala Rema Namakula kuba buli muntu, kyeyegomba. Wadde bangi ku bannayuganda babadde bagamba nti obufumbo bwa Kenzo ne Rema buyuuga nnyo, embeera eriwo, kiraga nti ebintu bitambula bulungi wakati wabwe. Ku Lwokutaano sabiti ewedde, Rema y’omu ku bayimbi abayiimba mu kivvulu kya Kenzo ku Serena Hotel mu Kampala […]
Omuyimbi Eddy Kenzo ayongedde okunyweza obufumbo bwe n’omukyala Rema Namakula kuba buli muntu, kyeyegomba.
Wadde bangi ku bannayuganda babadde bagamba nti obufumbo bwa Kenzo ne Rema buyuuga nnyo, embeera eriwo, kiraga nti ebintu bitambula bulungi wakati wabwe.
Ku Lwokutaano sabiti ewedde, Rema y’omu ku bayimbi abayiimba mu kivvulu kya Kenzo ku Serena Hotel mu Kampala ng’ajjaguza okuweza emyaka 10 mu kisaawe ky’okuyimba era bangi ku badigize baafuna essannyu.

Mu kivvulu ekyo, bangi ku bantu bavaayo bakakasiza nti kituufu Rema yazzeemu okufuna ensigo ya Kenzo era ali lubuto lw’omwana owokubiri.
Okusinzira ku kigatto waffe, Rema ali lubuto wakati w’emyezi ebbiri kw’esatu (2 oba 3) era ennaku zinno ayambala nnyo ebigoye ebinene okubuzabuza ensonga n’okulya obuyembe obuto.
Abamu bagambye nti olubuto lutandiise okulabika, ekiraga nti embeera yabwe nungi nnyo mu kiseera kino.

Kigambibwa, Kenzo ne Rema baziza omukwano gwabwe obuggya nga tumalako omwaka 2018 era Rema okufuna olubuto kye kimu ku kibala ekyava mu mbeera eyo.
Kenzo alina abaana babiri abamanyiddwa nga Rema yakazaala omwana omu.
Mu kiseera kino Kenzo ali mu ssannyu lwa mirundi ebbiri (2) omuli okujjaguza emyaka 10 mu kisaawe ky’okuyimba n’okufuna abantu bangi mu kivvulu kye ssaako n’ebigambibwa nti omukyala ali lubuto.
Lindirira ebisingawo ku nsonga eyo.