Omuyimbi Bebe Cool alangiridde nti omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni yawadde ssente abategesi b’ebivvulu, okusasula amabanja gabwe. Abategesi b’ebivvulu abenjawulo bagamba nti ku nkomerero y’omwaka oguwedde ogwa 2018, bafiirwa ssente mpitirivu nnyo olwa Poliisi okulemesa Bobi Wine okuyimba mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo ate nga ssente zebakoseza omuli okulanga ku Laadiyo, TV, okupangisa ekifo, bazeewola […]
Omuyimbi Bebe Cool alangiridde nti omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni yawadde ssente abategesi b’ebivvulu, okusasula amabanja gabwe.
Abategesi b’ebivvulu abenjawulo bagamba nti ku nkomerero y’omwaka oguwedde ogwa 2018, bafiirwa ssente mpitirivu nnyo olwa Poliisi okulemesa Bobi Wine okuyimba mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo ate nga ssente zebakoseza omuli okulanga ku Laadiyo, TV, okupangisa ekifo, bazeewola mu zi bbanka n’abantu abenjawulo.

Okuva mu Desemba wa 2018, babadde basaba Gavumenti okubasasula ssente zabwe zebafiirwa oba okukiriza Bobi Wine okuddamu okuyimba, basobole okomyawo ssente zabwe.
Wabula Bebe Cool bw’abadde ku BBS TV mu pulogulamu ‘Amaaso ku Ggwanga’ ekkiro ekikeseza olunaku lwa leero agambye nti Pulezidenti Museveni yawadde abategesi b’ebivvulu akawumbi kamu n’obukadde 500 okusasula amabanja gabwe.
Bebe Cool era agambye nti abantu balina okukomya okuvuma Pulezidenti Museveni kuba musajja awuliriza buli muntu era mwetegefu nnyo okuyamba buli munnayuganda ali mu buzibu.