Bobi Wine musinga nnyo obuwagizi n’okwagalwa abantu, Bebe Cool alabudde aba People Power, awadde ensonga ze

©GALAXY

Omuyimbi Moses Ssali amanyikiddwa nga Bebe Cool awadde bannayuganda enseko bwategezeza nti asinga omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) amaannyi n’obuwagizi eri abantu. Bebe Cool bw’abadde ku BBS TV mu pulogulamu ‘Amaaso ku Ggwanga’ ekkiro ekikeseza olunaku lwa leero agambye nti mu 2021 agenda kuwagira ssentebbe w’ekibiina kya NRM Yoweri […]


Omuyimbi Moses Ssali amanyikiddwa nga Bebe Cool awadde bannayuganda enseko bwategezeza nti asinga omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) amaannyi n’obuwagizi eri abantu.

Bebe Cool bw’abadde ku BBS TV mu pulogulamu ‘Amaaso ku Ggwanga’ ekkiro ekikeseza olunaku lwa leero agambye nti mu 2021 agenda kuwagira ssentebbe w’ekibiina kya NRM Yoweri Kaguta Museveni ne Bobi Wine agenda kuba ku ludda lwe, era alina esuubi nti Museveni agenda kuddamu okuwangula kuba alina abantu abatuufu ate bannayuganda bakyamwagala.

Bebe Cool agamba nti abantu bangi nnyo abawagira Pulezidenti Museveni kuba asobodde okukola ebintu bingi nnyo mu ggwanga lino n’okusingira ddala emirembe, bannayuganda okusobola okukola emirimu gyabwe awatali kutataganyizibwa.

Mungeri y’emu agambye nti wadde Bobi Wine yalondebwa ng’omubaka wa Palamenti, tewali bukakafu bulaga nti alina nnyo obuwagizi kuba ne mu Palamenti NRM yesiinga ababaka ate bonna bakiririza mu Pulezidenti Museveni.