ZIZINO ENSONGA! Talina buyinza kunsalirawo, Bebe Cool avuluzze kitaawe Bidandi Ssali, ayogedde lwaki Museveni amusiinga nnyo

©GALAXY

Kyaddaki omuyimbi Moses Ssali amanyikiddwa nga Bebe Cool abikudde ekyama lwaki mu 2011 yagaana okuwagira kitaawe Jaberi Bidandi Ssali owa People’s Progressive Party (PPP) eyali yesimbyewo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga lino. Bebe Cool bw’abadde ku BBS TV mu pulogulamu ‘Amaaso ku Ggwanga’ ekkiro ekikeseza olunaku lwa leero agambye mu 2011 yali asusizza emyaka 18 era […]


Kyaddaki omuyimbi Moses Ssali amanyikiddwa nga Bebe Cool abikudde ekyama lwaki mu 2011 yagaana okuwagira kitaawe Jaberi Bidandi Ssali owa People’s Progressive Party (PPP) eyali yesimbyewo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga lino.

Bebe Cool bw’abadde ku BBS TV mu pulogulamu ‘Amaaso ku Ggwanga’ ekkiro ekikeseza olunaku lwa leero agambye mu 2011 yali asusizza emyaka 18 era yalina eddembe okwesalirawo omuntu omutuufu agwabidde okulembera ggwanga.

Agamba nti wadde Bidandi Ssali ye kitaawe, ssentebbe w’ekibiina kya NRM Yoweri Kaguta Museveni yalina ebigendererwa n’ ebirowoozo ebirungi okulakulanya eggwanga ate kitaawe talina buyinza kumulagira ku muntu omutuufu gw’alina okuwagira oba okulonda.

Bebe Cool era agambye nti eggwanga lisinga famire era y’emu ku nsonga lwaki yalina okulonda Pulezidenti Museveni ku lw’eggwanga nalekawo kitaawe Bidandi.

Engeri abantu gye balonda mu 2011