Minisita avunaanyizibwa ku kukwasisa empisa, Fr. Simon Lokodo agobye Paasita Martin Ssempa ku kakiiko akateekeddwa okulwanyisa obuseegu mu ggwanga lino. Okusinzira ku kiwandiiko ekyateekebwako omukono, Minisita kenyini nga 18, December, 2018, Lukodo yawa ensonga ezenjawulo omuli Paasita Ssempa okwebulankanya ku mirimu gye, nalemwa okuyamba akakiiko. Mungeri y’emu Minisita Lokodo yawa Paasita ssempa ennaku 14 okutekayo […]
Minisita avunaanyizibwa ku kukwasisa empisa, Fr. Simon Lokodo agobye Paasita Martin Ssempa ku kakiiko akateekeddwa okulwanyisa obuseegu mu ggwanga lino.
Okusinzira ku kiwandiiko ekyateekebwako omukono, Minisita kenyini nga 18, December, 2018, Lukodo yawa ensonga ezenjawulo omuli Paasita Ssempa okwebulankanya ku mirimu gye, nalemwa okuyamba akakiiko.
Mungeri y’emu Minisita Lokodo yawa Paasita ssempa ennaku 14 okutekayo okwewozaako kwe, ekintu kyatakola.
Kinnajjukirwa nti Paasita Ssempa owa Makerere Community Church yalondebwa mu August wa 2017 okukikirira bannaddini kyokka bukya alondeddwa, alemeddwa okutambuza emirimu gye.
Ennaku ziino, abadde yavaayo okulwanyisa omuyimbi Bobi Wine, olw’okuyimba oluyimba “Tuliyambala Engule”, kyokka mu kiseera kino, agobeddwa ku ky’okulwanyisa obuseegu.
Abamu ku bawagizi b’ekisinde kya ‘People Power’ bagamba nti Paasita Ssempa okulumbagana Bobi Wine mu lwatu, akyafuna ebizibu bingi era alina okwetonda mu bwangu.