Okuwuliriza emisango egivunaanibwa, Mathew Kanyamunyu, muganzi we munnansi wa Burundi Cynthia Munwangari ne muganda we Joseph Kanyamunyu, kutandika enkya ya leero mu maaso g’omulamuzi Stephen Mubiru owa kkooti enkulu mu Kampala. Kanyamunyu ne muganzi we Munwangari bavunaanibwa okutta Joseph Akena olw’okukolobola mmotoka yaabwe. Ate Joseph Kanyamunyu muganda wa Kanyamunyu avunaanibwa omusango gw’okuyambako muganda we okukweka […]
Okuwuliriza emisango egivunaanibwa, Mathew Kanyamunyu, muganzi we munnansi wa Burundi Cynthia Munwangari ne muganda we Joseph Kanyamunyu, kutandika enkya ya leero mu maaso g’omulamuzi Stephen Mubiru owa kkooti enkulu mu Kampala.
Kanyamunyu ne muganzi we Munwangari bavunaanibwa okutta Joseph Akena olw’okukolobola mmotoka yaabwe.
Ate Joseph Kanyamunyu muganda wa Kanyamunyu avunaanibwa omusango gw’okuyambako muganda we okukweka obujulizi, bwe yakweka emmundu ekika kya basitoola eyakozesebwa okutta Akena, kyokka emisango gyonna bagyegaana.

Oludda oluwaabi lugamba nti nga 12, November, 2016, Kanyamunyu bwe yali ne muganzi we mu mmotoka kika kya V8 Land Cruiser Prado nnamba UAW 548W nga bali e Lugogo, Akena yakalabula emmotoka yaabwe.
Mu bukambwe obungi, kigambibwa nti, Kanyamunyu yaggyayo basitoola n’amukuba amasasi asatu (3) mu lubuto n’agwa wansi, naye olw’okutya abantu okumuzingako yaddusa Akena mu ddwaaliro lya Norvik mu Kampala n’ategeeza abasawo nti amuyambye n’amutaasa kyokka Akena bwe yali tannafa n’agamba abasawo n’abehhanda ze nti Kanyamunyu amuleese mu ddwaaliro y’amukubye amasasi.

Kigambibwa nti oluvannyuma lwa Kanyamunyu okutegeera nti, yeesudde mu buzibu yakubira muganda we Joseph Kanyamunyu eyajja ku ddwaaliro n’amuggyako basitoola mu mmotoka n’agikweka era n’okutuusa kati poliisi tegifunanga.
Kanyamunyu ne banne baayungudde bannamateeka abamaanyi okuli Caleb Alaka, Evans Ocheng n’abalala okubataasa emisango egibavunaanibwa ate oludda oluwaabi lulina looya omu yekka Fatina Nakafeero.
Kanyamunyu ne banne bali ku kakalu ka kkooti ka bukadde 10 akabaweebwa nga 10, ogwokuna, 2017 nga kkooti ekkiriza beeyimirirwe.