BAMBI! Amaggye gatabukidde Kitatta mu kkooti, akirizza byonna ku mmundu era ayogedde amazima ku byaliwo

©GALAXY

Kyaddaki Abdallah Kitatta alidde ebigambo bye mu kkooti y’amaggye e Makindye mu maaso ga ssentebbe wa kkooti, Lt. Gen. Andrew Gutti ekyewunyisiza abantu. Kitatta akirizza nti yali akutte ku mmundu bwe baali batwaliddwa e Kyankwanzi okutendekebwa n’okusomesebwa ng’abakulembeze ba National Resistance Movement (NRM) mu Kampala kuba ye ssentebbe wa NRM e Lubaga wadde mukusooka yategeeza […]


Kyaddaki Abdallah Kitatta alidde ebigambo bye mu kkooti y’amaggye e Makindye mu maaso ga ssentebbe wa kkooti, Lt. Gen. Andrew Gutti ekyewunyisiza abantu.

Kitatta akirizza nti yali akutte ku mmundu bwe baali batwaliddwa e Kyankwanzi okutendekebwa n’okusomesebwa ng’abakulembeze ba National Resistance Movement (NRM) mu Kampala kuba ye ssentebbe wa NRM e Lubaga wadde mukusooka yategeeza nti bukya azaalibwa takwata nga ku mmundu.

Mu kkooti, Kitatta era yagambye nti “Ssibangako memba era ssentebbe wa Boda Boda 2010 wabula nali muyima (patron), abavuzi bebidduka omuli takisi, loole, baasi, Bodaboda, n’abavuzi b’ebigaali mu butale obwenjawulo bebanonda”.

Kitatta era yagambye nti “Mukama wange nze saasoma nnyo kugenda wala era nalowooza nti nfunye obukulembeze okuyambako mu kulongoosa omulimu gwabwe omuli okunyweza ebyokwerinda kyokka nsaba banyambe okunsomesa amakulu g’ekigambo patron kuba nze ng’omuntu nsobeddwa eka ne mu kibira “.

Kitatta agamba nti obukulembeze bwe obulungi, y’emu ku nsonga lwaki yali amanyikiddwa eri abasirikale abenjawulo mu Kampala kuba baali bateekeddwa okwatagana mu kunyweza ebyokwerinda.

Kitatta ne banne 9 bali ku misango gy’okusangibwa n’ebyokulwanyisa omuli emmundu, amasasi mu ngeri emenya amateeka, ebyambalo by’amaggye n’ebintu ebirala.