AMWABIIZA! Ebipya bizuuse, omusajja aleese bwiino ku ngeri Bebe Cool gye yafuna ssente okugula emmotoka ya ‘Hummer’

©GALAXY

Kyaddaki munnakatemba Amooti Omubalanguzi abikudde ekyama lwaki abayimbi bangi bayingidde mu ebyobufuzi nga bakulembeddwamu omuyimbi Bobi Wine. Amooti agamba nti abayimbi tebakyafuna ssente mu kuyimba kwabwe kuba Gavumenti eremeddwa okubayamba okuteekawo etteeka lya “Copy Right” ate nga batekamu nnyo, kwekusalawo okugenda mu Palamenti okufuna ssente eziyinza okubayamba. Mungeri y’emu Amooti agambye nti abayimbi bangi bali […]


Kyaddaki munnakatemba Amooti Omubalanguzi abikudde ekyama lwaki abayimbi bangi bayingidde mu ebyobufuzi nga bakulembeddwamu omuyimbi Bobi Wine.

Amooti agamba nti abayimbi tebakyafuna ssente mu kuyimba kwabwe kuba Gavumenti eremeddwa okubayamba okuteekawo etteeka lya “Copy Right” ate nga batekamu nnyo, kwekusalawo okugenda mu Palamenti okufuna ssente eziyinza okubayamba.

Amooti
Amooti

Mungeri y’emu Amooti agambye nti abayimbi bangi bali mu mbeera mbi nga ne Bebe Cool okufuna ssente okugula emmotoka ekika kya “Hummer”, basooka kumukuba amasasi, kwekufuna ssente okuva eri omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni.

Amooti agamba nti abayimbi olw’obutafuna ssente mu kuyimba, kiwaliriza bangi okutekawo obubadi okusobola okufuna ssente.

Kinnajjukirwa nti Bebe Cool yakubwa amasasi mu January, 26, 2010 ekiro ng’ava ku Centenary Park ng’ayita emabega wa Nakumatt ne bakanyama be abalala okwali Cobra ne Iran Masengere ne baddusibwa mu ddwaaliro e Nsambya.

Omulamuzi Esta Nambayo owa kkooti y’e Nakawa yasiba omuserikale Alfred Achikane eyamukuba amasasi, emyaka mwenda (9) oluvannyuma lw’okumusingisa omusango gw’okugezaako gw’okutta omuntu.

Kigambibwa Gavumenti yasasula Bebe Cool obukadde obusukka mu 250 okumuliyirira ssente ze yasaasaanya mu musango gw’okukubibwa omuserikale wa poliisi okumukuba amasasi.