BITABUSE! Musajja wa Bobi Wine akwattiddwa mu bukambwe, Poliisi ezudde ebizibiti ebikwekeddwa

©GALAXY

Poliisi ku kisaawe Entebbe olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu yakutte Mbaziira Vicent era yasangiddwa n’engoye naddala enkufiira, eziriko ekigambo bya ‘People Power’ ekikozesebwa omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine wamu n’abawagizi be okwetolola eggwanga. Okusinziira ku beerabiddeko nagaabwe, Mbaziira yakwatiddwa n’ebisawo bibiri (2) nga bijjudde engoye ekika kino nga naye mwennyini […]


Poliisi ku kisaawe Entebbe olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu yakutte Mbaziira Vicent era yasangiddwa n’engoye naddala enkufiira, eziriko ekigambo bya ‘People Power’ ekikozesebwa omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine wamu n’abawagizi be okwetolola eggwanga.

Okusinziira ku beerabiddeko nagaabwe, Mbaziira yakwatiddwa n’ebisawo bibiri (2) nga bijjudde engoye ekika kino nga naye mwennyini asangiddwa ayambadde omujoozi omumyufu nga tekwabadde kigambo kyonna.

Enkufiira endala kwabaddeko ekigambo “Oppressed Majority” era abamu ku bantu bagambye nti kirabika muwagizi wa Bobi Wine nnyo oba muntu we.

Ku nsonga eyo, akulira ebyokwerinda by’okukisaawe ky’ennyonyi Entebbe James Ruhweza akakasizza okukwatibwa kwa Mbaziira.

Mbaziira yabadde ava bweru w’aggwanga okusuubula ebintu kyokka eggwanga lye yabadde avaamu terimanyiddwa.

Mu kiseera kino tekimanyiddwa lwaki yakwattiddwa era Poliisi erindiriddwa okuvaayo ku nsonga eyo, okutegeeza eggwanga.