Poliisi y’e Mityana ekutte famire y’abantu 6 ku by’okusaddaka omuntu. Abakwattiddwa kuliko ssemaka Edward Senkandwa myaka 66, omukyala we n’abaana ku by’okusaddaka omu ku baana ategerekeseko nga Nanteza myaka 34 okusobola okutandikawo esabbo, okufuna omulimu. Poliisi egamba nti ku Lwomukaaga ekiro, nga 19, Janwali, 2019 Ssemaka Senkandwa nga yegatiddwako famire ye n’omusawo w’ekinnansi, bakunganidde ku […]
Poliisi y’e Mityana ekutte famire y’abantu 6 ku by’okusaddaka omuntu.
Abakwattiddwa kuliko ssemaka Edward Senkandwa myaka 66, omukyala we n’abaana ku by’okusaddaka omu ku baana ategerekeseko nga Nanteza myaka 34 okusobola okutandikawo esabbo, okufuna omulimu.
Poliisi egamba nti ku Lwomukaaga ekiro, nga 19, Janwali, 2019 Ssemaka Senkandwa nga yegatiddwako famire ye n’omusawo w’ekinnansi, bakunganidde ku kyalo Kawansenyi okutekateeka emikolo gy’okutandiika esabbo nga betaaga omusaayi gw’omuntu era y’emu ku nsonga lwaki Nanteza bamusaddase era yakubiddwa emiggo okutuusa lwe yafudde.
Omusawo w’ekinnansi ategerekeseko nga Jorum nga yegatiddwako banne okuli Mukasa, Musoke, Dembe, Nakayaga, Kasaka ne Nsamba bebakulembeddemu okuzimba esabbo lya ssemaka Senkandwa.
Kigambibwa mukutongoza esabbo n’okusaddaka omwana, ssemaka Senkandwa ne famire ye, baali begatiddwako baneyiba basatu (3) era oluvanyuma omulambo gwa Nanteza gwatwalibwa mu fumbiro lya Senkandwa, okubuzabuza obujulizi era Poliisi gye yagusanze.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi bye Wamala, Norbert Ochom, famire yonna ekwatiddwa ku misango gy’obutemu ate omusawo w’ekinnansi aliira ku nsiigo mu kiseera kino, omulambo gwatwaliddwa mu ddwaaliro e Bukomero okwongera okwekebejjebwa.