Poliisi egudde mu lukwe lw’ababbi e Kireka, 3 bakubiddwa amasasi

©GALAXY

Abantu 3 ku 6 bakubiddwa amasasi ne basigala nga bali mu mbeera mbi nnyo ku babbi abalumbaganye omutuuze ku kyalo Kireka- Bira mu disitulikiti y’e Wakiso ku luguudo lwe Hoima, ekkiro ekikeseza olunaku lwa leero. Abanyazi bayingiridde omutuuze Godfrey Atukwatse ku ssaawa nga 7 ez’ekiro ate ku ssaawa nga 8, baneyiba kwekulengera abasajja 6 abakutte […]


Abantu 3 ku 6 bakubiddwa amasasi ne basigala nga bali mu mbeera mbi nnyo ku babbi abalumbaganye omutuuze ku kyalo Kireka- Bira mu disitulikiti y’e Wakiso ku luguudo lwe Hoima, ekkiro ekikeseza olunaku lwa leero.

Abanyazi bayingiridde omutuuze Godfrey Atukwatse ku ssaawa nga 7 ez’ekiro ate ku ssaawa nga 8, baneyiba kwekulengera abasajja 6 abakutte ebijjambiya nga battika ebintu ku mmotoka.

Baneyiba nga bakulembeddwamu Mustapha Bogere beekengedde embeera ne bakubira poliisi amasimu, eyasobodde okwanukula mu bwangu era ku babbi 6, 3 bakubiddwa amasasi.

Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, ababbi 3 abakubiddwa, batwaliddwa mu ddwaliro ekkulu e Mulago wakati mu by’okwerinda okujanjabwa nga Poliisi bwenoonyereza abalala 3 abasobodde okuduuka.

Owoyesigyire era agambye nti Poliisi yasobodde okusuuza ababbi ebimu ku bintu ebyabadde bibibwa.