Poliisi etandiise okunoonyereza ekyaviridde omusajja Ronald Mutaka myaka 38 okwetuga olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu. Mutaka abadde mutuuze ku kyalo Kigalama mu ggoombolola y’e Namutumba mu disitulikiti y’e Namutumba era yasangiddwa nga yetugidde ku muti gw’omuyembe, emanju w’amakaage. Okusinzira ku muganda w’omugenzi, Rogers Mutaka, bageenda mu dddwaaliro ne beekebejja muganda we, abasawo kwekumutegeeza nti tayinza kuzaala […]
Poliisi etandiise okunoonyereza ekyaviridde omusajja Ronald Mutaka myaka 38 okwetuga olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu.
Mutaka abadde mutuuze ku kyalo Kigalama mu ggoombolola y’e Namutumba mu disitulikiti y’e Namutumba era yasangiddwa nga yetugidde ku muti gw’omuyembe, emanju w’amakaage.
Okusinzira ku muganda w’omugenzi, Rogers Mutaka, bageenda mu dddwaaliro ne beekebejja muganda we, abasawo kwekumutegeeza nti tayinza kuzaala kuba ng’akyali muvubuka, yeyambisa enkola y’ekizaala gumba ne bamusala enseke olw’obutamanya.
Agamba nti, ekyasinze okuviirako muganda we okwetuga, yakitegedde nti mukyala we, yafunye olubuto ate nga ye tazaala.
Rogers Mutaka era agambye nti bawangadde mu bufumbo ne mukyala we emyaka 15 era omukyala yabadde amusuubiza okunoba singa 2019 agwako nga tafunye lubuto.
Omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Busoga East James Mubi agambye nti batandiise okunoonyereza ekituufu ekyaviridde omusajja okwetuga era omulambo gwe gwatwaliddwa mu ddwaaliro e Iganga okwekebejjebwa.