Omugagga Brian Kirumira amanyikiddwa nga Bryan White awadde ensonga ze lwaki yeesonyiwa abayimbi mu kibiina kye ekya Bryan White Foundation. Bryan White yatandika okusembeza abayimbi mu Bryan White Foundation oluvanyuma lwa Mowzey Radio okufa nga 1, February, 2018. Abamu ku bayimbi beyakwata ku mukono mwe mwali Weasel Manizo, Dj Michael, Big Eye, Jose Chameleone, Cindy […]
Omugagga Brian Kirumira amanyikiddwa nga Bryan White awadde ensonga ze lwaki yeesonyiwa abayimbi mu kibiina kye ekya Bryan White Foundation.
Bryan White yatandika okusembeza abayimbi mu Bryan White Foundation oluvanyuma lwa Mowzey Radio okufa nga 1, February, 2018.
Abamu ku bayimbi beyakwata ku mukono mwe mwali Weasel Manizo, Dj Michael, Big Eye, Jose Chameleone, Cindy Sanyu n’abalala ssaako ne bannakatemba Madrat ne Chiko, Alex Muhangi, Mendo n’abalala era mu mbeera eyo, wateekebwawo enjogera nti bali ku ‘Podium’.
Mu kiseera kino Bryan White agamba nti talina muyimbi yenna ku Podium era awadde ensonga ezanjawulo.
Agamba nti abayimbi abamu balowooza nti batuuka ne balemwa okutambuza emirimu, abamu tebagabwako ku nsobi zaabwe.
Ensonga endala agambye nti,” Nkooye okunenyezebwa ku nsonga z’abayimbi kuba bangi ku bannayuganda balemeddwa okusiima okuyamba kwange eri abayimbi wabula okunvuma buli lunnaku nange okwetonda buli kaseera”.
Bryan White agamba nti abayimbi yabeesonyiye era agenda kweyambisa ssente ze okulwanyisa ebikolobero omuli abavubuka abenyigira mu bubbi, okunywa enjaga n’ebiragalaragala oluvanyuma baweebwe emirimu nga bakyusiza ebirowoozo byabwe.
Bryan White ali mu bitundu bye Busunju gye yasimba amakanda ennaku zino.