AMUSWAZIZZA NNYO! Fille awadde ensonga 3 lwaki yesonyiwe waaya ya MC Kats wadde ebadde emutuuka, ayogedde ensonga z’omu kisenge

©GALAXY

Omuyimbi Fille Mutoni myaka 27 alangiridde nti tagenda kuddamu kukola ne bba Edwin Katamba amanyikiddwa nga Mc Kats owa NBS. Fille ne Mc Kats bafunye obutakaanya ng’abagalana era kigambibwa bayawukanye wadde balina omwana. Ku lunnaku Olwokutaano, Fille bwe yabadde ayogerako ne DJ Nimrod mu Pulogulamu Mid Morning Tukoone ku 100.2 Galaxy FM, yanokoddeyo ensonga 3 […]


Omuyimbi Fille Mutoni myaka 27 alangiridde nti tagenda kuddamu kukola ne bba Edwin Katamba amanyikiddwa nga Mc Kats owa NBS.

Fille ne Mc Kats bafunye obutakaanya ng’abagalana era kigambibwa bayawukanye wadde balina omwana.

Ku lunnaku Olwokutaano, Fille bwe yabadde ayogerako ne DJ Nimrod mu Pulogulamu Mid Morning Tukoone ku 100.2 Galaxy FM, yanokoddeyo ensonga 3 lwaki bafunye obutakaanya ne MC Kats.

Fille agamba nti ensonga ya ssente n’obutakolagana kyamuwaliriza okwawukana era mu kiseera kino MC Kats agiddwa ku bantu abalina okutambuza omuziki gwe.

Mungeri y’emu agambye nti MC Kats asukkiridde okweyambisa amaannyi ge olw’okuba aludde nnyo mu byempuliziganya omuli Laadiyo ne Ttiivi okulemesa ennyimba ze okukubwa kyokka byonna yetegese okubirwanyisa.