Kyaddaki bannakibiina kya Democratic Party (DP) basambaze ebibadde byogerwa nti balina entekateeka okulemesa omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine okwesimbawo ku bwa Pulezidenti mu kulonda kwa 2021. Ku ntandikwa y’omwezi gunno ogwa Janwali, ebibiina okuli People’s Development Party (PDP) ekikulemberwa Dr Abed Bwanika n’ekibiina kya Social Democratic Party (SDP) ekya […]
Kyaddaki bannakibiina kya Democratic Party (DP) basambaze ebibadde byogerwa nti balina entekateeka okulemesa omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine okwesimbawo ku bwa Pulezidenti mu kulonda kwa 2021.
Ku ntandikwa y’omwezi gunno ogwa Janwali, ebibiina okuli People’s Development Party (PDP) ekikulemberwa Dr Abed Bwanika n’ekibiina kya Social Democratic Party (SDP) ekya Michael Mabikke basse omukago ne DP okusobola okuleeta enkyukakyuka mu ggwanga mu 2021.
Okusinzira ku Dr Bwanika, Mabikke ne Nobert Mao owa DP, 2021 buli kifo okuvira ddala ku kya Pulezidenti bagenda kusimbawo omuntu omu, okusobola okuggya munna NRM Yoweri Kaguta Museveni mu buyinza.
Abamu ku bannansi babadde bagamba nti Dr Bwanika ne Mabikke okuddayo mu DP, kikoleddwa okulemesa Bobi Wine okwesimbawo ku bwa Pulezidenti n’okukendeza ku buwagizi bwe.
Abalala babadde bagamba nti Bwanika ne Mabikke bambega ba Pulezidenti Museveni abasindikiddwa okuddayo mu DP okutataaganya pulogulamu zaabwe era mbu baweereddwa ssente mpitirivu okutabangula ekibiina kya DP.

Ku nsonga eyo, Bwanika agambye nti abantu batandiise okwogera ebigambo okubaggya ku mulamwa omunene okuggya Museveni mu buyinza mu 2021.
Bwanika agamba nti, “Nze ne Bobi wine tuwuliziganya buli lunnaku era ffe ne People Power tewali njawulo kuba tuli ku mulamwa omunene, ebigambo bya bantu tebigenda kutulemesa”.
Mungeri y’emu agambye nti, “toyinza kulemesa People Power kuba si kibiina wabula mugendo gwa byabufuzi ogwagala enkyukakyuka mu ggwanga”.
Tekimanyiddwa nga DP eyinza okuwagira Bobi Wine ku bwa Pulezidenti mu 2021 singa n’avaayo mu lwatu okwesimbawo. Mu 2016, DP yawagira John Patrick Amama Mbabazi owa Go-Forward.