MUSWADDE! Capt Mukula agumizza bannayuganda ku bwa Pulezidenti mu 2021, avuluzze Bobi Wine ne People Power

©GALAXY

Omumyuka wa Ssentebe wa National Resistance Movement (NRM) mu buvanjuba bw’eggwanga Capt Mike Mukula agambye nti ekisinde kya People Power ekikulemberwa omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine tebayinza kutisatiisa kibiina kyabwe. Mukula bwe yabadde asisinkanyeko bassentebbe ba NRM mu buvanjuba bw’eggwanga ku Resort Hotel mu kibuga Mbale ku lunnaku Olwokutaano, […]


Omumyuka wa Ssentebe wa National Resistance Movement (NRM) mu buvanjuba bw’eggwanga Capt Mike Mukula agambye nti ekisinde kya People Power ekikulemberwa omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine tebayinza kutisatiisa kibiina kyabwe.

Mukula bwe yabadde asisinkanyeko bassentebbe ba NRM mu buvanjuba bw’eggwanga ku Resort Hotel mu kibuga Mbale ku lunnaku Olwokutaano, yagambye nti NRM erina abakulembeze bangi mu ggwanga lyonna ku byalo nga tewali ngeri yonna gye bayinza kutya People Power.

Capt Mukula era agambye nti Gavumenti ya NRM egenda kukola nnyo okulwanyisa ebbula ly’emirimu n’obwavu mu bannayuganda ng’eyita mu kuzimba amakolero.

Agamba nti mu Uganda, NRM ky’ekibiina kyokka ekirina obuwagizi okuva ku byalo era tewali kibiina kyonna ku ludda oluvuganya Gavumenti ekiyinza okubakanga mu kulonda kwa 2021 era Yoweri Kaguta Museveni alina okuddamu okuwangula obuyinza.