MUTUUFU OBA! Balaam abuulidde Bobi Wine amazima ku nsonga z’obwa Pulezidenti, ayogedde ekyama kye wakati we ne Museveni

©GALAXY

Omutegesi w’ebivvulu Balaam Barugahara ayatulidde omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine ku nsonga z’obwa Pulezidenti bw’eggwanga lino. Abamu ku bannayuganda balina ekirowoozo nti mu 2021, Bobi Wine ayinza okwesimbawo okuvuganya ssentebbe wa National Resistance Movement (NRM) Yoweri Kaguta Museveni ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga lino. Wabula Balaam agamba nti […]


Omutegesi w’ebivvulu Balaam Barugahara ayatulidde omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine ku nsonga z’obwa Pulezidenti bw’eggwanga lino.

Abamu ku bannayuganda balina ekirowoozo nti mu 2021, Bobi Wine ayinza okwesimbawo okuvuganya ssentebbe wa National Resistance Movement (NRM) Yoweri Kaguta Museveni ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga lino.

Wabula Balaam agamba nti talina buzibu bwona ne Bobi Wine kuba buli muntu akola mirimu gye.

Mungeri y’emu agambye nti ye muwagizi wa Pulezidenti Museveni era tewali muntu yenna ayinza kumusindikiriza kuwagira muntu mulala.

Balaam agamba nti wadde mukwano gwa Bobi Wine, tayinza kumuwagira ku bwa Pulezidenti kyokka singa alondebwa okulembera Uganda, basobola okwatagana mu by’emirimu.

Ssabavvulu Balaam era agambye nti,” Bobi Wine alina okulinda emyaka 20 okusobola okwesimbawo ku bwa Pulezidenti kuba mu kiseera kino Museveni kyaliwo nnyo ate abantu bakyamwagala kuba akoze nnyo okulakulanya Uganda”.