Edwin Katamba amanyikiddwa nga MC Kats awadde abantu enseko bw’alangiridde omuntu gw’agenda okulya naye obulamu ku lunnaku lwa baagalana. Kimanyiddwa nti MC Kats n’omukyala Fille Mutoni bafuna obutakaanya ne bawuukana nga kivudde ku nsonga ezenjawulo. Kigambibwa Fille yali akooye empisa za MC Kats omuli obwenzi kyokka neyegaana wadde yali mulungi nnyo okutunda omuziki gwe kuba […]
Edwin Katamba amanyikiddwa nga MC Kats awadde abantu enseko bw’alangiridde omuntu gw’agenda okulya naye obulamu ku lunnaku lwa baagalana.
Kimanyiddwa nti MC Kats n’omukyala Fille Mutoni bafuna obutakaanya ne bawuukana nga kivudde ku nsonga ezenjawulo.
Kigambibwa Fille yali akooye empisa za MC Kats omuli obwenzi kyokka neyegaana wadde yali mulungi nnyo okutunda omuziki gwe kuba yali manejja we.
MC Kats yabadde ku NBS mu Pulogulamu ‘After 5’ nga bakubaganya ebirowoozo ku lunnaku lwa baagalana olukuzibwa buli mwaka nga 14, Febwali ng’akubiriza abantu okutwala abaagalwa baabwe okusanyuka ku lunnaku olwo.
Mu ngeri y’okusaaga, DJ Roja yabuuziza MC Kats nti gwe ku lunnaku lwa baagalana ogenda kutwala ani kuba Fille yamusuddewo?
MC Kats yasobodde okwanukula mu bwangu era yagambye nti agenda kutwala muwala we.
Ebigambo bya MC Kats okulangirira okutwala muwala we ku lunnaku lwa baagalana, kabonero akalaga nti talina ssuubi lyonna nti ayinza okudingana ne Fille mu kiseera kino.