Mu nsi yonna, ekigambo mukwano kibuzabuza abantu bangi nnyo era abakyala bebuuza nnyo abaami baagala ki, n’abakyala webatyo. Mu kiseera kino, MC Kats ebintu bimusobedde era asobeddwa ku mukyala omutuufu gw’alina okuddamu okuzaalamu omwana. Amawulire getufunye galaga nti omukwano wakati w’omuwala Eve Patricia ne MC Kats tegutambula bulungi era basemberedde okwawukana. Kigambibwa mbu Patricia yavuddeyo […]
Mu nsi yonna, ekigambo mukwano kibuzabuza abantu bangi nnyo era abakyala bebuuza nnyo abaami baagala ki, n’abakyala webatyo.
Mu kiseera kino, MC Kats ebintu bimusobedde era asobeddwa ku mukyala omutuufu gw’alina okuddamu okuzaalamu omwana.
Amawulire getufunye galaga nti omukwano wakati w’omuwala Eve Patricia ne MC Kats tegutambula bulungi era basemberedde okwawukana.
Kigambibwa mbu Patricia yavuddeyo ewa MC Kats nga kivudde ku nsonga z’omukyala Fille Mutoni.
Abali ku lusegere lwa MC Kats bagamba nti alemeddwa okwerabira Fille mu birowoozo bye wadde baayawukana era buli ssaawa amwogerako, ekintu ekyanyiziza ennyo omuwala Patricia.
Patricia mbu yanyiize olwa MC Kats okwogera ennyo ku Fille era mbu y’emu ku nsonga lwaki ewa MC Kats yavuddeyo kuba abadde alemeddwa okukola obulungi bwekituuka ku nsonga z’omu kisenge.

Wabula ne Fille agamba nti tayinza kwerabira MC Kats wadde bafunye obutakwatagana kuba ye taata w’omwana we, yamuggya mu kyalo, bavudde wala naye, asobodde okumutunda mu kisaawe ky’okuyimba era balina okutuula bombi okunoonya amagezi engeri gye bayinza okusigala nga bakwatagana.