VIDIYO! Mulekerawo okunsalirawo ddi lwe nina okwebaka ne bba wange wadde okumuzaalira, Rema atabukidde bannayuganda

©GALAXY

Omuyimbi Rema Namakula atabukidde bannayuganda abayingirira obulamu bwe okumumalako emirembe gye. Rema yabadde ku laadiyo emu era mu kwogera, yanokoddeyo ebintu ebyenjawulo ebisinga okumunyiza okuva mu bannayuganda n’abamu ku bawagizi be. Rema agamba nti ” mulekerawo okwagala okusalawo emmere Rema gy’alina okulya awaka, engeri gy’alina okukuza abaana be, engeri gy’alina okwambala, togenda kunsalirawo ddi lwe […]


Omuyimbi Rema Namakula atabukidde bannayuganda abayingirira obulamu bwe okumumalako emirembe gye.

Rema yabadde ku laadiyo emu era mu kwogera, yanokoddeyo ebintu ebyenjawulo ebisinga okumunyiza okuva mu bannayuganda n’abamu ku bawagizi be.

Rema agamba nti ” mulekerawo okwagala okusalawo emmere Rema gy’alina okulya awaka, engeri gy’alina okukuza abaana be, engeri gy’alina okwambala, togenda kunsalirawo ddi lwe nina okwebaka ne bba wange”.

Ebigambo bya Rema kabonero akalaga nti akooye abantu okumulemerako nga bebuuza lwaki alemeddwa okuzaalira bba Eddy Kenzo omwana owokubiri.