Zari Hassan y’omu ku bakyala abalemera ku nsonga era kimufudde omukyala owenjawulo mu East Africa ne Africa yonna. Zari y’omu ku bakyala abalina ku ssente wadde emirimu gye tegimanyiddwa bulungi. Mukyala muzadde alina abaana 5, 3 yabazaala mu mugenzi Ivan Semwanga eyafa nga 25, May, 2017 ate 2 mu muyimbi Diamond Platnumz wadde bafuna obutakaanya […]
Zari Hassan y’omu ku bakyala abalemera ku nsonga era kimufudde omukyala owenjawulo mu East Africa ne Africa yonna.
Zari y’omu ku bakyala abalina ku ssente wadde emirimu gye tegimanyiddwa bulungi.
Mukyala muzadde alina abaana 5, 3 yabazaala mu mugenzi Ivan Semwanga eyafa nga 25, May, 2017 ate 2 mu muyimbi Diamond Platnumz wadde bafuna obutakaanya ne bawuukana wakati mu lutalo lw’ebigambo n’okwerangira ebisongovu.
Zari asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram era agambye nti abakyala abamu banoonya abasajja okufumbirwa olwa ssente n’ebyobugagga byabwe kyokka ye alina okuba omukyala omugagga, “While you are looking for rich husbands, i wana be the rich wife”.
Ebigambo bye, abamu ku bagoberezi be bagambye nti abadde abusindikira muggya we era mukyala wa Platnumz omuggya Tanasha Donna Oketch okuva mu ggwanga erya Kenya.
Bagamba nti Tanasha ayagala Platnumz kuba musajja alina ssente n’erinnya mu Africa yonna.
Ebigambo ya Zari kiraga nti Tanasha yayagala taata w’abaana be Platnumz lwa ssente.