Poliisi ekyasobeddwa lwaki omuyimbi Catherine Kusasira akyalemeddwa okubawa siteetimenti ku musango gwe yawaaba Maj Gen (Rtd) Kasirye Ggwanga ng’amulanga okuggyayo emmundu n’akuba emmotoka ye omupiira ekika kya Toyota Premio namba UAY 083Y sabiti ewedde mu bitundu bye Makindye. Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga, Afande Fred Enanga ba mbega ba Poliisi bakoze kyonna ekisoboka […]
Poliisi ekyasobeddwa lwaki omuyimbi Catherine Kusasira akyalemeddwa okubawa siteetimenti ku musango gwe yawaaba Maj Gen (Rtd) Kasirye Ggwanga ng’amulanga okuggyayo emmundu n’akuba emmotoka ye omupiira ekika kya Toyota Premio namba UAY 083Y sabiti ewedde mu bitundu bye Makindye.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga, Afande Fred Enanga ba mbega ba Poliisi bakoze kyonna ekisoboka okutukirira Kusasira okubawa siteetimenti kyokka bakyalemeddwa okumutuukako ng’abekweka.
Enanga bwe yabadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe kya Poliisi mu Kampala ekya CPS, yagambye nti tebajja kupondooka okutuusa nga bamaze okujja siteetimenti ku Kusaasira n’abakoze be abaali ku mmotooka eyakubwa amasasi.
Enanga era agambye nti Kusasira alemeseza omusango okugenda mu maaso kuba alemeddwa okuwa Poliisi siteetimenti ate nga yagulawo omusango ku Poliisi y’e Katwe amangu ddala ng’emmotooka ye ekubiddwa amasasi.