Bebe Cool alaze Bobi Wine amaanyi, babano abayimbi abanene batuute eri Pulezidenti Museveni okulaga obuwagizi bwaabwe

©GALAXY

Olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu, abayimbi abenjawulo nga bakulembeddwamu Bebe Cool baalaze nti tewali muntu yenna ayinza kubawula ku ssentebbe w’ekibiina kya NRM era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni. Bebe Cool ne banne omuli Catherine Kusasira, Dj Micheal, Big Eye n’abalala, beetabye ku mukolo gy’okukuza  olunaku lw’amagye olwa ‘Terehe Sita’ olw’omulundi ogwa  38 olubaawo Febuary […]


Olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu, abayimbi abenjawulo nga bakulembeddwamu Bebe Cool baalaze nti tewali muntu yenna ayinza kubawula ku ssentebbe w’ekibiina kya NRM era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni.

Bebe Cool ne banne omuli Catherine Kusasira, Dj Micheal, Big Eye n’abalala, beetabye ku mukolo gy’okukuza  olunaku lw’amagye olwa ‘Terehe Sita’ olw’omulundi ogwa  38 olubaawo Febuary 6, buli mwaka. Ku lunaku luno mu 1981, abayekera ba NRA abaali baduumirwa Yoweri Museveni  (nga tanafuuka Pulezidenti ) baatandika olutalo olwasuula  gavumenti ya Obote ne Gen. Tito Okello Lutwa  bwe baalumba enkambi y’amagye e  Kabamba – Mubende.

Olutalo luno lwe lwaleeta Pulezidenti Museveni mu buyinza mu 1986 kyokka ng’erinnya lya NRA  lyakyusibwa mu kukola Konsituusoni ya 1995 ne lifuuka UPDF.

Emikolo  gy’okukuza olunaku luno gyabadde ku ttendekero ly’abasomesa erya Kitgum Core PTC e Kitgum mu Acholi era gyakulembeddwamu Pulezidenti Museveni.

Bebe Cool n’abayimbi abalala babadde bayambadde enkofiira eziriko ebigambo “Silent Majority” okakasa abantu nti bawagira NRM ne Pulezidenti Museveni era tebayinza kuwagira muyimbi munaabwe Bobi Wine wadde yegwanyiza obuyinza bw’eggwanga.