BAMBI! Ensonga z’obubina bw’abakyala zizaalidde Minisita Kiwanda obuzibu, bamulagidde alekulire mu bwangu

©GALAXY

Abakyala bannakyewa abeegatira mu kibiina kyabwe ekya Uganda Women’s Network (UWONET), bakangudde ku ddoboozi, basabye Minisita omubeezi ow’ebyobulambuzi, Godfrey Kiwanda Ssuubi, alekulira bunnambiro. Abakyala aba UWONET, bagamba nti ekya Minisita okutongoza empaka z’okunoonya omukyala asinga ffiga mu Uganda kyongedde okwewuula ekitiibwa kyabwe. Minisita Kiwanda mu kutoongoza empaka ezo, yawadde ezimu ku nsonga lwaki abakyala, kyabulambuzi […]


Abakyala bannakyewa abeegatira mu kibiina kyabwe ekya Uganda Women’s Network (UWONET), bakangudde ku ddoboozi, basabye Minisita omubeezi ow’ebyobulambuzi, Godfrey Kiwanda Ssuubi, alekulira bunnambiro.

Abakyala aba UWONET, bagamba nti ekya Minisita okutongoza empaka z’okunoonya omukyala asinga ffiga mu Uganda kyongedde okwewuula ekitiibwa kyabwe.

Minisita Kiwanda mu kutoongoza empaka ezo, yawadde ezimu ku nsonga lwaki abakyala, kyabulambuzi mu ggwanga lino.

Agamba nti buli mukyala alina enkula ye omuli Abaganda, Abasoga, Abatooro, Abagishu n’amawanga amalala era kigenda kuyamba nnyo okuzuula lwaki baakula webatyo.

Rita Aciro
Rita Aciro

Ensonga ezo, abakyala ba UWONET nga bakulembeddwamu Rita Aciro bagamba nti Kiwanda alemeddwa emirimu gye, kuba yandibadde akulemberamu okulwanyisa ekitta bakyala mu ggwanga ekiyinza okulemesa abalambuzi okuggya mu Uganda okusinga okutunda ffiga zabwe n’okuwebuula ekitiibwa kyabwe.

Aciro agamba nti kino kye kiseera okulekulira kuba alemeddwa okunoonya ebintu ebituufu ebiyinza okusikiriza abalambuzi okweyongera mu Uganda.

Eddoboozi lya Rita Aciro