Wadde bangi ku bannayuganda sibamativu ne Minisita omubeezi ow’ebyobulambuzi, Godfrey Kiwanda Ssuubi ku ky’okutwala omuwala Anita Fabiola okulemberamu okutumbula ebyobulambuzi mu bitundu by’ebuvanjuba bwa Uganda, tekiremesezza mirimu kutambula. Bangi ku bannayuganda bakyebuuza lwaki Nnalulungi wa Africa Quiin Abenakyo yasuuliddwa nasikizibwa Fabiola. Wadde abantu balina ensonga zabwe, Minisita Kiwanda ne Fabiola balemeddeko okukola ebyo ebiyinza okutunda […]
Wadde bangi ku bannayuganda sibamativu ne Minisita omubeezi ow’ebyobulambuzi, Godfrey Kiwanda Ssuubi ku ky’okutwala omuwala Anita Fabiola okulemberamu okutumbula ebyobulambuzi mu bitundu by’ebuvanjuba bwa Uganda, tekiremesezza mirimu kutambula.
Bangi ku bannayuganda bakyebuuza lwaki Nnalulungi wa Africa Quiin Abenakyo yasuuliddwa nasikizibwa Fabiola.
Wadde abantu balina ensonga zabwe, Minisita Kiwanda ne Fabiola balemeddeko okukola ebyo ebiyinza okutunda Uganda mu byobulambuzi era waliwo ebifaananyi ebirabiddwako nga bali ku mirimu gyabwe.
Kiwanda ne Fabiola babadde ku mazzi nga balambula kyokka Fabiola abadde ayambalidde Minisita Kiwanda akagoye kakokoonyo akalaga ebisambi ebyamyuka n’okumuwa omukisa okulambula byonna omulundi gumu.
Minisita Kiwanda abadde musanyufu nnyo era abamu ku bannayuganda basigadde bebuuza ekimuwadde enseko.
Mu mbeera eyo, abamu bagambye nti Minisita abadde anyumirwa bulamu wakati we ne Fabiola, abalala bagambye nti ebithambi by’omuwala biwadde essannyu kyokka byonna byakuteebereza kuba tewali alina bukakafu.